Waka 2018-08-23T12:24:19+00:00
Two young people browsing the internet

Tube b’amazima.

Wakoma ddi okusoma “Amateeka n’obukwakkulizo” nga tonnaba kwewandiisa kutandika kukozesa mpeerezayonna mpya ku mutimbagano gwa internet?

Tetukunenya. Kuba kyangu okubuzaabuzibwa olulimi lw’ekinnamateeka olukozesebwa.

Naye omanyi ekituuka ku byama byo ng’omuntu, oluvannyuma lw’okunyiga akapesa akagamba nti: “Nzikirizza amateeka n’obukwakkulizo?” Kati lowooza ku kituuka ku byama byo nga weewandiisa okufuna endagamuntu y’eggwanga, bw’olonda, oba buli lwe weemulugunya ku mpeereza ya Government?

Katuzuule.

Did you know that privacy is your human right?

Eddembe lya twekisize, kitegeeza nti: Ebyama by’omuntu byonna bikuumibwa butiribiri obutasasaanira mu lwatu. Okusookera ddala, omuntu alina eddembe okuweebwa ekyanya. Twekisize kintu kikulu nnyo eri ekitiibwa ky’omuntu n’ensa gamba ng’eddebe ly’okwetaba n’abalala b’oyagala, wamu n’eddembe ly’okwogera.

“Ssirina ky’enkweka!”

Twekisize ku bikukwatako kye ki?

Twekisize ku bikukwatako, atunuulira enkozesa wamu n’enkwata y’ebyama by’omuntu. Muno muzingiramu: Enkuηηaanya, enkozesa n’empaanyisiganya y’ebikukwatako n’amakampuni, ob’olyawo ne Government.

Fenna tulina ebyama. Ebimu binene ebirala bitono.

Teebereza, ng’obuuliddeko mukwano gwo ekyama kyo, wabula ate mukwano n’akozesa omukisa guno okukozesa amawulire ago okukusalira omusango, oba n’atuuka n’okutandika okukibuulira abantu abalala. Olwo abantu abalala ne batandika okweyambisa ekyama kyo okukulwanyisa.

N’olwekyo, ekyo kye kituuka ku bikukwatako ng’omuntu.

Man hiding computer screen
Citizen Engagement

Eddembe lyo ng’omuntu likosa litya engeri gye wenyigira mu bigenda mu maaso mu ggwanga mnga munnansi?

Emirundi mingi, okulonda mu mawanga g’Africa gakoseddwa nnyo okusooozebwa eri ddimookulaasiya, nga kitandikira ku ffujjo n’okutiisibwatiisibwa ne kituuka ku kibba bululu n’emivuyo. Okuva emabega bannansi bazze baggyibwako obuyinza bwabwe naddala mukwenyigira mu by’obufuzi, wamu n’okufuna amawulire. Ttekinologiya azzizza buggya engeri bannansi gye bayinza okwenyigira mu nteekateeka za ddimookulaasiya okwetoloola ssemazinga yenna.

Wabula ate, Government yeeyongedde okuvaayo okulambika n’okukyweza enkoseza y’emitimbagano, nga muno mwotwalidde n’ekikyasembyeyo eky’okuggyako emitibagano, kko n’okussaawo amateeka amakakali agafuga enkozesa y’emitimbagano. Eky’ennaku, amawanga g’Africa tegalina nkola nnambulukufu ezikumaakuma bannansi na buli akwatibwako okwenyigira mu mitendera egiyitwamu okussaawo amateeka agakwata ku mutimbagano wamu n’eddembe lyabwe eribakosa butereeu ng’abantu. Twala eky’okulabirako, obululu bwammwe bw’olonda kikyayinza obutaba kya kyama, oba ebikwata ku bulamu bwo obw’ekyama ku ddwaaliro lyo, bikyayinza obutaba na bukuumi bumala. Kino fenna kitweraliikiriza.

Wabula ate tulina kyetusobola okukola. Gye tukoma okuba n’obumanyi, gye tukoma okumanya engeri gye tulwaniriramu eddembe lyaffe.

Yongera okumanya ku kusunsula, okwekaliriza, wamu n’okweyambisa kalimagezi ku bukuumi ng wano wammanga.

Man covering eyes of someone on their laptop
Man covering computer user's eyes
Woman's computer being monitored
Woman's computer being watched by cameras and spies
Man spamming and hacking
Man phishing information online