Surveillance 2018-09-06T11:08:40+00:00
Woman's computer being monitoredWoman's computer being watched by cameras and spies

Okulondoola, kitegeeza okuba ng’ebintu byo byonna by’otambuliza ku mutimbagano bitunuulirwa butiribiri omuntu ow’ebbali naddala amakampuni agali mu mpeereza ku mutimbagano, amakampuni g’obwanannyini, Government yo, abakozesa, ebitongole ebirondoola obuzzi bw’emisango, oba abantu abalala bonna

Nga bwe kitera okweyolekera mu ffirimu, kino kitegeeza kussibwako liisojjoji oba okulondoolwa emmotoka ezirimu ebyuma ku nguudo eziriko emitimbagano.

Okulondoola kusobola okukozesebwa okugoberera obwerende, okuziyiza, wamu n’okulinnya akagere abazzi b’emisango, wabula ate kisobola okukozesebwa obubi, abantu abalondoola ebikukwatako ku mutimbagano nga tomanyi okusobola okuganyulwa mu by’obufuzi oba mu by’enfuna.

Okuteebereza okukyasembyeyo okuva mu kitongole ekimanyiddwa nga Cambridge Analytical Scandal, kirumiriza Uhuru Kenyatta mu kunoonya obululu bwa President, okupangisa emikutu gimugattabantu okusobola okufuna obubaka obwatambuliranga mu kunoonya obululu wamu n’okumanya ebikwata ku balonzi. Kino kyali kisoboka kubanga, facebook erondoola byonna by’okolera ku mukutu gumugattabantu, era esobola n’okumanya enneeyisayo okuva mw’ekyo. N’olwekyo amawulire ago geeyambisibwa okufuna obubaka obwogera ku bikuyamba n’ebikusiiga enziro.

Okulondoola kulina ebirungi n’ebibi naye omanyirawa abo bakikozesa obubi. Abamu balaba ebibi ng’ebirungi wabula ng’ate kino kiba kikosa bannansi bonna.

Okulondoola kusobola okwetamya abantu Government yaabwe wamu n’empeereza.

Ekitongole ky’ebyemisolo ekya Government gye buvuddeko, kyayisa ekiragiro bank z’obusuubuzi zonna okwanika account z’abantu bonna abazirimu. Kubaga baakizuula nti singa account ezo bazimanya, kisobola okwanguya enzirukanya y’emirimu gyabwe. Wabula ate kino ne bwe kyandibadde nga kyetaagisa, kyokka ng’ekigendererwa ky’okwanika account zino tekimanyiddwa bulungi, kikyayinza okulinnyirira eddembe lya twekisize eri abo abakozesa bank. N’olwekyo kino kisobola okutwalibwa ng’okwagala okulingiriza ensimbi za buli munnansi.

Man accessing information on a laptop
Woman in job interview having her Social Media profile scrutinized

Ebikukwatako ku mikutu gimugattabantu: bye bituufu oba bulimba?

Teebereza ng’ogenda kugezesebwa ku mulimu gwozze nga weegwanyiza okukola obulamu bwo bwonna. Naye nga tonnayingira mu kisenge mw’ogenda okugezeserezebwa, agenda okubeera mukamawo yamaze dda okukola okusalawo okusinziira ku bye wassa ku mukutu gwo ogwa mugattabantu. Kyenkana abakozesa bonna, kwe kugamba ebitundu ebisukka mu 90% bagamba nti balina okunoonya bye wassa ku mukutu gwo ogwamugattabantu nga tebannakugezesa oba mu kiseera ky’okukugezesa.

Ne bw’oba nga weesiga abantu boowaanyisiganya nabo ebyama byo, ebitindiro bino birekawo omukululo ku bintu by’okola n’obubaka bw’oweereza. Omuntu yenna bwagenda ku mukutu gwo, oba n’afuna omukisa n’akwata ku ssimu yo oba kalimageziyo, ebikukwatako byonna eby’ekyama biba bigenze.

Kale teebereza oyo ssi y’agenda okubeera mukamaawo gye bujja, wabula nga ye Government. Basobola batya okweyambisa ebikukwatako okukusosola okweyambisa empeereza gy’ofuna? Oba okukubonereza olwebirowoozo byo ebivumirira engeri gye batambuzaamu emirimu gamba ng’obuli bw’enguzi oba olw’obutabaawo nkulaakulana? Abalwanirira eddembe ly’obuntu, n’abakubi b’enduulu gamba nga: omuntu alabula omulalaoba ekitongole eky’enyigira mu bumenyi bw’amateeka oba mu bikolwa ebitali bya buntu, ebiseera ebisinga bigudde mu katego k’okuswazibwa, okusibwa okutulugunyizibwa, siakindi n’okuttibwaolw’ebirowoozo byabwebye bawaanyisiganyizza.

Ggwe kiki ky’olowooza?

Okulondoola kulina engeri gye kwongera ku bukuumi bwa bannansi?

Police n’ebitongole ebikuuma ddembe ebirala byeyambisa ttekinologiya ow’omulembe okufuna obubaka okuva ku bantu abo, be batwala ng’aboobulabe ennyo naddala abo abali ku ludda oluvuganya, wamu n’okuyita mu nkola eza bulijjo gamba nga: okufuna ebikwata ku masimu ge bakuba nga tebafunye lukusa okuva eri abaddukanya empeereza y’essimu. Okweyambisa enkola ekika ekyo okulondoola wabulabe nnyo mu kutangira abantu okweyabya era kitangira n’abantu okuba n’endowooza ez’enjawulo naddala mu kwenyigira mu by’obufuzi nga batya ebinaakivaamu.

Kyangu okwerimbika mu kwagala okukuuma eby’okwerinda by’eggwanga, mbu kubanga eggwanga lirina okweyambisa amawulire gebafunye okusobola okukuuma bannansi obutatuusibwako bikolwa bya butujjo. Newankubadde nga bino byonna weebiri, abakyala okwetoloola Africa yonna, bakyagenda mu maaso n’okukolebwako ebikolwa eby’ekko gamba ng’okukakibwa omukwano, okuttibwa nga bwe kyeyolekera mu mwaka gwa 2017 mu bitundu bye Ntebbe, abakyala 23 bwe battibwa.

Wabula abaakikola tebakwatibwanga.

Inaction to Crimes