Security 2018-09-06T09:52:42+00:00
Man spamming and hackingMan phishing information online

Abantu gye bakoma okugenda mu maaso n’okweyambisa enkola eno, n’ebikolwa by’obufere gamba ng’emivuyo, okwerimbika mu bintu ebitalibibyo, wamu n’okubba endagam. Obuzzi bw’emisango ku mutimbagano kiviirako okufiirizibwa mu by’enfuna. Mu Uganda nga kino kibalirirwamu obuwumbi UGX22billion buli mwaka, nga kino kyalambikibwa mu alipoota emanyiddwa nga “The Africa Cyber Security Report 2016.” Ensonga ezaanokolwayo ku ky’okweyongera kw’obuzzi bw’emisango ekika kino kivudde ku bukugu obuteereddwaamu abazzi b’emisango bannansi, wamu n’obutabaawo kulambikibwa okuva mu Government n’ebitongole ebivunanyizibwa. Mu kiseera kino, omukago gwa East Africa, tegulina tteeka lirambika nkozesa ya bintu bikwata ku muntu ne twekisize. Wabula waliwo enteekateeka ku mateeka g’emisango egiddizibwa ku kalimagezi eyatondebwawo 2008..

Ebyokwerinda byogera ku bukuumi oba ebikukwatako kye ki. Ebikukwatako ng’omuntu bivira ddala ku nnambayo ey’ekyama okutuuka ku card yo, n’endagabutonde. Olina obukuumi singa owaayo ebikukwatako ku butuuti obuli ku mitimbagano? Omanyi ebikukwatako gye bikuumirwa oba oyo abirinaku obuyinza?

Eby’okwerinda kintu kikulu nnyo kubanga, ebikukwatako ng’omuntu bisobola okweyambisibwa mu bikolwa ebimenya amateeka gamba ng’okukwerimbikamu; emivuyo; okubba ebikukwatako, n’emivuyo emirala mingi nnyo ebityoboola eddembe lyo erya twekisize.

Obuzibu obunene ennyo obwolekedde eby’okwerinda mu East Africa be bafere abafumbekedde ku mutibagano, abaweereza abantu obubaka nga babusabise ng’obuva mu bifo ebituufu basobole okubasikiriza babawe amawulire agabakwatako ag’ekyama, gamba ng’ennamba zaabwe ez’ekyama ziyite password, ne nnamba za card zaabwe okuterekebwa ensimbi.

Ebikukwatako biri mu katyabaga? Okukuuma ebikukwatako

Ebikukwatako biri mu katyabaga? Okukuuma ebikukwatako.
Ng’amakampuni nga facebook gagenda mu maaso n’okukuηηaanya ebitukwatako, kyabuvunaanyizibwa okutandika okwefumiitiriza ku biyinza okutuuka bitukwatibwako ebikuηηaanyizibwa Government. Tukimanyi nti amawanga nga India gatandise okukuηηaanya ebikwata ku bannansi basobole okumanya buli kibakwatako okuviira ddala ku ngeri gye batambuzaamu emirimu gyabwe naddala abakozi ba Government, account zaabwe oba amasimu. China yeesambisa ebikwata ku bantu okusobola okuteeka mu miteeko ne batuuka n’okubawa obubonero ku mpeereza ebaweebwa. Bw’oba n’obubonero obutono, okyayiza n’okummibwa empeereza gamba obutakkirizibwa kukozesa ntambula ya lukale, oba obutakkirizibwa kufuluma ggwanga. Olwo ate bw’oba ng’olina endowooza ey’enjawulo ku ngeri Government gy’etambuzaamu eggwanga, oba nga wandyagadde okulonkoma omukungu omulyake? Bw’oteeberezebwa, obubonero bwo buba bwolekedde okukendeezebwa. Kino kiba kitegeeza ki eri eddembe ly’obuntu gamba ng’erya twekisize, okwolesa ky’oyagala, okugenda gy’oyagala n’ebirala?

Government ng’ogivuddeko, enkola makampuni g’obwanannyinikirina ku bikwata ku bantu, kirina akakwate ku biyinza okuva mu by’obufuzi. Mu ggwanga lya America mu 2016 wamu ne wano mu Kenya mu 2017, twategeezebwa lwatu ng’ebikwata ku bantu bwe birina akakwate ku ku kiyinza okusalibwawo, enneeyisa y’affe, ebyobufuzi mwetugwa, wamu n’enfuga mwetutambulira. Okukuuma obutiribiri ebikwata ku bantu kikulu nnyo okusobola okukuuma abantu abeenyigira mu bigenda mu maaso mu ggwanga n’emisingi gya ddimookulaasiya.

Kiki ekiri mu kinkumu? Okulondoola omuntu olubeerera n’ebimukwatako

Endagabutonde y’enkola y’okwekenneenya enfaanana y’abantu n’enneeyisa yaabwe. Bino bisobola okuba ebinkumu, enjogera, obwenyi, emmunye n’enkula yaayo, ebibatu, engeri omuntu gy’atambulamu, enkula y’amatu oba endagabutonde. Endagabutondeyo tefaanana ya mulala. Ebikukwatako bino bikozesebwa okukulondoola n’okukakasa enfaananayo ona ekikula. N’olwekyo enfaananayo n’ebikukwatako bikuwa obukuumi n’okukwanguyiza okuyita mu mitendera gy’okukwekenneenya gamba nga mu kulonda, okufuna empeereza ya Government, n’ebirala.

Emirundi mingi Government ekozesa endagabutonde Zaffe ku ndagamuntu, mu kwewandiisa mu by’okulonda, ne mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira n’okufuluma eggwanga. Mu 2016, akakiiko k’ebyokulonda mu Uganda, keeyambisa ttekinologiya ow’omulembe okwekenneenya n’okukakasa abalonzi ng’okukuba obululu tekunnabaawo. Endagabutonde era yeeyambisibwa mu bitongole ebigabi by’obuyambi naddala mu kuwandiisa abanoonyi b’obubudamu, wabula ate era by’eyambisibwa n’amakampuni g’obwanannyini ng’ebitongole by’ebyensimbi.

Kati obuzibu buli ludda wa? Ewatali nteekateeka nnungi n’enkola ntuufu ez’okukuuma ebyama by’abantu, wamu n’obutabaawo butuuti obw’ekika ekyawaggulu okusobola okubyekenneenya, ebyama byaffe bikyayinza okusibira mu mikono gy’abantu abakyamu. Kino kisobola okuviirako emivuyo, okutaataaganyizibwa, wamu n’okuziyizibwa okwenyigira mu bigenda mu maaso. Amaterekero g’ebyama by’abantu gasobola okukkiriza Government oba ebitongole by’abantu ssekinnoomu okutandika okulondoola entambulazo, ekintu ekirinnyirira eddembe lyo erya twekisize.

Man providing biometric information

Ebirowoozo: endagabutonde kirungi gye tuli oba kya bulabe?

Obweraliikirivu ku buzzi bw’emisango ku mutimbagano kye ki?

Obweraliikirivu ku buzzi bw’emisango ku mutimbagano kye ki?
Okweyongera kw’obweraliikirivu ku bumenyi bw’amateeka ku kalimagezi, lye ffujjo erikolerwa ku mayengo g’omutimbagano eri abakyala. Mu Uganda kati abakyala bangi abettanira omutimbagano bukya luba nga lwa mmindi. Ebyama by’omuntu ng’ebifaananyi n’obutambi, bikukusibwa ne bisasaanyizibwa ku mikutu gi mugattabantu, ng’abakyala tebakkirizza. Abakyala be basinga okugwa mu katego kano ak’okuswazibwaswazibwa, okulinnyirirwa wamu n’okukolebwako ebikolwa eby’effujjo ku mitimbagano, wabula ng’ate obunene bwa kino tebumanyiddwa kubanga ebisinga tebiroopebwa. Mu alipoota y’amawanga amagatte ekyasembyeyo okufulumizibwa, effujjo erikolerwa ku kalimagezi oba emitimbagano, kyazuulibwa okuba nga kikosa abakyala okwefanaanyirizaako omuntu atuusiddwaako ebisago ku mubiri.


T Emisango ekika kino mingi, era ng’emirundi egisinga abakyala bebasinga okukosebwa ebikolwa bino, gamba ng’okuswazibwaswazibwa, okulinnyirirwa, wamu n’okusasaanya ebyama by’omuntu nga takkirizza. Abakyala abali mu bifo by’obukulembeze ebibawa enkizo gamba ng’ababaka ba Parliament, abasaka amawulire ne bannamawulire bebatera okulumbibwa nga bayitira ku mitimbagano, okugezaako okufutyanka endowooza zaabwe mu nsonga z’okutabagana n’okwenyigira mu bigenda mu maaso mu ggwanga. Abakyala abasinga basalawo kusirika ku bigendamu maaso, ekivaamu kwe kwesonyiwa okukubaganya ebirowooo oba okuva ku mikutu gimugattabantu, ekintu ekiwa ababasojja ku luwonzi okubakirako.

Woman being harassed from her mobile phone

Okutiisatiisa abantu n’okubaswazaswaza ku mitimbagano
Okutiisizatiisiza abantu ku kalimagezi, kitegeeza okweyambisa omutimbagano okusobola okumuggya ku mulamwa gamba ng’okumuweereza obubaka obumukangakanga oba okumutiisatiisa. Kino kizigiramu okwonoona erinnya ly’omuntu, okutiisatiisa okumukolko effujjo, obubaka bw’obuseegu n’ekigendererwa ky’okumuggya ku mulamwa, okubasiiga enziro oba okubayisaamu amaaso.

Okulinnyirira abantu ng’oyita ku mitimbagano
Okulinnyirira omuntu kitegeeza, omuntu okweyambisa amayengo g’omutimbagano okuswaza omulala mubugenderevu, okulinnyirira wamu n’okumutiisatiisa. Obumenyi bw’amateeka buno businga kuyitira mu email, emikutu gimugattabantu, ebitimba, okusindikirwa obubaka obw’omujjirano, oba okuyita ku butuuti bwonna ku mutimbagano. Okulinnyirira eddembe ly’omuntu kiyinza n’okukolebwa nga kiyitira mu nkola zikaasangwa okutiisatiisa bannaffe katugambe okweyambisa enkola yonna endala etali mutibagano okumutyoboola.

Okuwaanyisiganya ebyama ku butuuti bw’olwatu ewatali lukusa
Kino kitegeeza kufuna n’okutandika okusasaanya ebyama by’omuntu mu lujjudde gamba ng’ebifaananyi, obutambi, ewatali lukusa lwonna, n’ekigendererwa ky’okusiiga enziro. Eky’okulabirako kye ky’okuwoolera ng’okozesa ebifaananyi by’obuseegu, gamba ng’ebifaananyi by’omukyala ng’ali bwereere ne biyitira ku mikutu gi mugatta bantu, era ng’ebiseera ebisinga bannannyinibyo ne batandika okuvumirirwa, ne baswazibwa era ne bawalirizibwa n’okwetonda.

Okubba ebiwandiiko by’omulala
Okubba ebiwandiiko by’omulala, musango singa omufere afuna ebiwandiiko by’omuntu omulala eby’omugaso nga endagamuntu, ennamba ewa omuvuzi w’emmotoka olukusa, n’asobola okwefuula ky’atali asobole okufuna ensimbi, oba okwegwanyiza ebintu ebirala ezitali nsimbi ku lw’omuntu oyo gw’aba asazeewo okwerimbikamu.

Okwogerera omuntu amafukuule
Buno bwe bubaka bwonna obusasaanyizibwa omulala n’ekigendererwa ky’okulumba omulala ng’abutambuliza ku kikula ky’oyo gw’alumba gamba ng’eggwanga, eddiini, obutonde bwe mu kikula, endowooza ye, n’ebirala

Okulengezza
Okulengezza, kwe kukola okunoonyereza era n’osalawo okusasaanya ebyama oba okunokolayo amawulire agakwata ku muntu sekinnoomu ku mutimbagano, ng’olina ekiruubirira ky’okumuswazaswaza. Amawulire gano gaba galuubirirwa okusasaanira mu lujudde lw’abantu n’oyo gwoyagala okulumba agalabe ng’oyitira ku mikutu gi mugattabantu, ebitimba ob’olyawo n’okumusisinkana mu buntu.

Okukonjera
Okukonjera, kye kikolwa ky’okusiga obukyayi ng’oyitira ku mutimbagano. Ofumba endowooza ezinyiiza abantu, ng’oweereza obubaka obuwawaaza oba obutali ku mulamwa, okusingira ddala ku mikutu gi mugattabantu oba ku butuuti ng’obwo, n’ekigendererwa ky’okusomooza ababusoma nabo basobole okumwanukula mu ngeri y’emu, n’oluvannyuma bave ku mulamwa omutuufu ogubadde gukubaganyizibwako ebirowoozo.

Okwewagaanya ewataliwawo
Okwewagaanya kwe kukozesa olukujjukujju nga weeyambisa kalimagezi okuyingirira w’otalina kuyingira oba amayengo agatali gago, era kino kye kikolwa ky’okuzza obuggya oba okukyusakyusa enkola za kalimagezi oba ebyuma byayo okusobola okutuukiriza ekiruubirirwa kyo, nga kino tekiri mu bigendererwa bya nnyiniyoomutuufu. Okwewagaanya era kusobola okukolebwa ofune oluwenda olw’okubba amawulire agakwata ku nnamba y’omuntu ey’ekyama, amawulire agamukwatako, ebiwandiiko, n’ebirala.

A man shocked at his infected computer

Malware and Phishing

Malware eno nkola ebangibwawo n’ekigendererwa ky’okwonoona, okukosa, oba okukusobozesa okufuna olukusa lw’okuyingirira enkozesa ya kalimagezi. So ng’ate Phibishing ye nkola ey’ekifere ey’okuweereza obubaka oba emails ng’obusabise ng’obuva mu makampuni amatuufu, n’ekigendererwa ky’okusendasenda abantu abatali bamu okukuwa ebyama byabwe ebibakwatako gamba ng’ennamba zaabwe ez’ekyama (password, ne nnamba za credit card). Obubaka buno buyinza n’okulabika ng’obuva ku mikwano gyo oba abo abali mu bitongole eby’ekikugu.

Bannamawulire, ba ppuliida, abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu, ebitongole by’obwannakyewa, n’abantu ba bulijjo bagenze baferebwa nga bayitira mu kalimagezi n’okwewagaanya mu emails zaabwe. Nga n’ebiseera ebisinga abafere bino babikola nga beefudde ng’ababikola ku lw’amawanga gaabwe. Bino byonna babikola basobole okumanya ennamba z’ekyama zemukozesa ku email, ku mikutu gimugattabantu, oba ku bibanja by’emitimbagano gy’otereka ebyama byo.

Kyamakulu okutunula enkaliririza nga weeyabisa emitimbagano, okusobola okwerinda ebikolwa by’abafere abalindiridde okubba ebikukwatako. Gezaako okulaba ng’ennambayo gy’okozesa ng’ekisumuluzo nnyweevu ekimala, gikyusekyuse entakera nga weeyambisa enkola enyangungu okukuuma ennambazo.

Oyagala kwongera kunyweza bukugu bwo ku bukuumi bw’emitimbagano? Manya ebimu ku bino.