Okutiisatiisa abantu n’okubaswazaswaza ku mitimbagano
Okutiisizatiisiza abantu ku kalimagezi, kitegeeza okweyambisa omutimbagano okusobola okumuggya ku mulamwa gamba ng’okumuweereza obubaka obumukangakanga oba okumutiisatiisa. Kino kizigiramu okwonoona erinnya ly’omuntu, okutiisatiisa okumukolko effujjo, obubaka bw’obuseegu n’ekigendererwa ky’okumuggya ku mulamwa, okubasiiga enziro oba okubayisaamu amaaso.
Okulinnyirira abantu ng’oyita ku mitimbagano
Okulinnyirira omuntu kitegeeza, omuntu okweyambisa amayengo g’omutimbagano okuswaza omulala mubugenderevu, okulinnyirira wamu n’okumutiisatiisa. Obumenyi bw’amateeka buno businga kuyitira mu email, emikutu gimugattabantu, ebitimba, okusindikirwa obubaka obw’omujjirano, oba okuyita ku butuuti bwonna ku mutimbagano. Okulinnyirira eddembe ly’omuntu kiyinza n’okukolebwa nga kiyitira mu nkola zikaasangwa okutiisatiisa bannaffe katugambe okweyambisa enkola yonna endala etali mutibagano okumutyoboola.
Okuwaanyisiganya ebyama ku butuuti bw’olwatu ewatali lukusa
Kino kitegeeza kufuna n’okutandika okusasaanya ebyama by’omuntu mu lujjudde gamba ng’ebifaananyi, obutambi, ewatali lukusa lwonna, n’ekigendererwa ky’okusiiga enziro. Eky’okulabirako kye ky’okuwoolera ng’okozesa ebifaananyi by’obuseegu, gamba ng’ebifaananyi by’omukyala ng’ali bwereere ne biyitira ku mikutu gi mugatta bantu, era ng’ebiseera ebisinga bannannyinibyo ne batandika okuvumirirwa, ne baswazibwa era ne bawalirizibwa n’okwetonda.
Okubba ebiwandiiko by’omulala
Okubba ebiwandiiko by’omulala, musango singa omufere afuna ebiwandiiko by’omuntu omulala eby’omugaso nga endagamuntu, ennamba ewa omuvuzi w’emmotoka olukusa, n’asobola okwefuula ky’atali asobole okufuna ensimbi, oba okwegwanyiza ebintu ebirala ezitali nsimbi ku lw’omuntu oyo gw’aba asazeewo okwerimbikamu.