Okulondoola, kitegeeza okuba ng’ebintu byo byonna by’otambuliza ku mutimbagano bitunuulirwa butiribiri omuntu ow’ebbali naddala amakampuni agali mu mpeereza ku mutimbagano, amakampuni g’obwanannyini, Government yo, abakozesa, ebitongole ebirondoola obuzzi bw’emisango, oba abantu abalala bonna
Nga bwe kitera okweyolekera mu ffirimu, kino kitegeeza kussibwako liisojjoji oba okulondoolwa emmotoka ezirimu ebyuma ku nguudo eziriko emitimbagano.
Okulondoola kusobola okukozesebwa okugoberera obwerende, okuziyiza, wamu n’okulinnya akagere abazzi b’emisango, wabula ate kisobola okukozesebwa obubi, abantu abalondoola ebikukwatako ku mutimbagano nga tomanyi okusobola okuganyulwa mu by’obufuzi oba mu by’enfuna.
Okuteebereza okukyasembyeyo okuva mu kitongole ekimanyiddwa nga Cambridge Analytical Scandal, kirumiriza Uhuru Kenyatta mu kunoonya obululu bwa President, okupangisa emikutu gimugattabantu okusobola okufuna obubaka obwatambuliranga mu kunoonya obululu wamu n’okumanya ebikwata ku balonzi. Kino kyali kisoboka kubanga, facebook erondoola byonna by’okolera ku mukutu gumugattabantu, era esobola n’okumanya enneeyisayo okuva mw’ekyo. N’olwekyo amawulire ago geeyambisibwa okufuna obubaka obwogera ku bikuyamba n’ebikusiiga enziro.
Okulondoola kulina ebirungi n’ebibi naye omanyirawa abo bakikozesa obubi. Abamu balaba ebibi ng’ebirungi wabula ng’ate kino kiba kikosa bannansi bonna.