

Okusunsula kitegeeza kunojjolamu bigambo, bifaananyi oba birowoozo gamba ng’okunojjolamu endowooza y’omuntu oba mu bantu kubanga amawulire gano gakyayinza okuba agasomooza oba ag’obulabe. Kino kitera okubaawo olw’abantu abaagala okukakaatika endowooza zaabwe, eby’obufuzi oba enneeyisa yaabwe kubalala. Okusunsula kuno kusobolaokukolebwa Government y’eggwanga, ebibiina by’obwanannyini, oba ebitongole. Waliwo ne kye bayita “okwetunulamu”. Bw’osalawo obutakozesa ddembe ery’okwogera olw’okutya ebinaakivaamu okuva eri Government, oba abo abakusinga olw’okuba n’endowooza ey’enjawulo okuva kweyo etwalibwa ng’entongole.

Okuggyako emitimbagano okwetoloola Africa yonna
Okutataaganyizibwa ku mutimbagano gamba ng’okuggyako emikutu gimugattabantu, ebiseera ebimu n’empeereza nga mobile money, bifuuse bya bulijjo okwetoloola ensi yonna. Okuggyako emitimbagano kitera kubaawo mu biseera by’okulonda oba mu biseera bya ddukadduka, newankubadde ng’ewamu bibaawo ne mu biseera by’okukola ebigezo ebiggalawo omwaka. Government oba ebitongole by’okwerinda, bisobola okulagira amakampuni g’amasimu okuggyako empeereza nga beerimbise mu by’okwerinda by’eggwanga n’obutebenkevu. Twala eky’okulabirako, mu Uganda emikutu gimugattabantu wamu ne mobile money byaggyibwako emirundi ebiri mu kulonda kwa 2016.
Okuggyako omutimbagano kuba kulinnyirira ddembe lyaffe ery’okufuna amawulire, okuwuliziganya, wamu n’okwenyigira mu bigenda mu maasomu ggwanga, nga baziyiza abantu okukubaganya ebirowoozo mu ggwanga, n’okubatangira okufuna empeereza ey’omugaso. Government zirina okuleka abantu okweyambisa omutimbagano, ng’omukutu ogw’okuyitamu okwenyigira mu by’obufuzi ga tewali abakuba ku Mukono.
Okusirisa bannamawulire
Okunoonyereza okukyasembyeyo kulaga nti, obutakkaanya okweyngera eri emikutu gy’amawulire okwetoloola ensi yonna, kuviiriddeko okutulugunya bannamawulire wamu n’eddembe ly’amawulire nga neEast Africa mwogitwalidde. Bannaawulire batandise okwetunulamu olw’okwewala effujjo wamu n’okutiisibwatiisibwa.
Bannamawulire ye namuziga etambuza amawulire eri bannansi, oba amawulire gali mu mpapula z’amawulire, ku Radio, oba ku TV. Amawulire amatuufu era amenkanya kikulu nnyo eri bannansi okusobola okukola okusalawo okutuukiridde, wamu n’okusalawo ku nsonga ez’etoloolera kukwenyigira mu by’obufuzi ne ku mpereza ebaweebwa. Ebiseera bingi kizibu okukakasa ekigenda mu maaso e Kampala okuva ku kwekyo ekiri mu District ezimwesudde. Mu mbeera eno, bannamawulire ge maaso era amatu gaffe, ekitegeez nti balina okuweebwa obukuumi okusobola okukola omulimu gwabwe mu mbeera ennungi era enteefu.


Okufuna amawulire
Uganda lye limu ku mawanga agasooka mu Africa, okubaga etteeka erikwata ku mawulire liyite “The Access to Information Act (ATIA), 2005, oluvannyuma ne babaga ebiragiro mu 2011, eriyamba okussa mu nkola etteeka. Biyite: (The Access to Information Regulations, 2011) kino kitegeeza nti buli munnayuganda, nga tofudde ku kiti mwagwa, alina eddembe okufuna amawulire okuva mu Government oba ekitongole kya Government kyonna. Lino lyabagibwa okulaba nga wabaawo enkola ennuηηamu, obutangaavu, Government okuwa embalirira, wamu n’okusobozesa bannansi okwenyigira mu kusalawo ebyo ebibakwatako , gamba ng’emmpeereza.
Eky’omutawaana, newankubadde bino byonna weebiri, okufuna amawulire ag’omugaso eri bannansi kukyali kusomoozebwa kw’amaanyi nga kino kiva ku bintu bingi gamba nga: obutamanya mateeka, emitendera egirina okuyitibwamu emingi, n’ebintu ebirala bingi. Walina okubaawo obwetaavu okulaba nga Parliament ne bannansi basitukiramu okulaba ng’abantu bafuna amawulire nga bayita mu kusomesa abantu ba bulijjo oba ebitongole bya Government, okweyambisa ttekinologiya ow’omulembe, kikendeeze ku mitendera emingi egiyitibwamu, wamu n‘okulinnyisa ku mutindo gw’ebyo ebibakwatako okutwaliza awamu.
Wali ogezezzaako okufuna amawulire aga lukale?
