Emirundi mingi, okulonda mu mawanga g’Africa gakoseddwa nnyo okusooozebwa eri ddimookulaasiya, nga kitandikira ku ffujjo n’okutiisibwatiisibwa ne kituuka ku kibba bululu n’emivuyo. Okuva emabega bannansi bazze baggyibwako obuyinza bwabwe naddala mukwenyigira mu by’obufuzi, wamu n’okufuna amawulire. Ttekinologiya azzizza buggya engeri bannansi gye bayinza okwenyigira mu nteekateeka za ddimookulaasiya okwetoloola ssemazinga yenna.
Wabula ate, Government yeeyongedde okuvaayo okulambika n’okukyweza enkoseza y’emitimbagano, nga muno mwotwalidde n’ekikyasembyeyo eky’okuggyako emitibagano, kko n’okussaawo amateeka amakakali agafuga enkozesa y’emitimbagano. Eky’ennaku, amawanga g’Africa tegalina nkola nnambulukufu ezikumaakuma bannansi na buli akwatibwako okwenyigira mu mitendera egiyitwamu okussaawo amateeka agakwata ku mutimbagano wamu n’eddembe lyabwe eribakosa butereeu ng’abantu. Twala eky’okulabirako, obululu bwammwe bw’olonda kikyayinza obutaba kya kyama, oba ebikwata ku bulamu bwo obw’ekyama ku ddwaaliro lyo, bikyayinza obutaba na bukuumi bumala. Kino fenna kitweraliikiriza.
Wabula ate tulina kyetusobola okukola. Gye tukoma okuba n’obumanyi, gye tukoma okumanya engeri gye tulwaniriramu eddembe lyaffe.
Yongera okumanya ku kusunsula, okwekaliriza, wamu n’okweyambisa kalimagezi ku bukuumi ng wano wammanga.